ESSIGA LYA KAVUMA E DDAJE

OKUKYALA KW’OWAKASOLYA K’EKIKA KY’ENGO – OMUTAKA MUTESAASIRA KU SSIGA LYAKAVUMA E DDAJJE MUBUSUJJU NGA 09-06-2018:

 

 

 

 

 

Ku Lwomukaaga nga 09-06-2018. Ab’essigalya Kavuma e Ddajje mu Busujju nga bakulembeddwamu Omutaka Kavuma Mutesaasira Patrickomukulu w’essiga lino baakyaza Ow’akasolya Omutaka Mutesaasira Keeya Tendo Namuyimba II ku butaka e Ddajje mu Busujju. Guno gwe gumu ku mikolo JjajjaMutesaasira gye yatandika ng’alambula bazzukulu be, n’abakulembeze abalala ku Masiga N’emituba egy’etuukira mu kika. Abakungu b’atuukira mu kulambula ekifo awamu n’ebiggya oluvannyumabaafuna olwendo lw’amazzi awamu n’entabaluganda mu nnyumba.

Oluvannyuma Omutaka n’adda mu kiddaala omukolo ne gutandika n’okuyimba: oluyimba lwe ggwanga, ekitiibwa kya Buganda n’oluyimba lw’ekika nga bwerulambikiddwa wammanga, Okuba Omubala Gw’ekika awamu n’esaala.

OLUYIMBA LWE KIKA KY’ENGO:

Ye Ffe Abaana Ba Buganda Abazirango Tutuuno Tuze Butesagga Tuwera Okuzimba Buganda Enywevu Naggwano Okukira Ensi Zonna Zewaasanze!

Obutaka Bwe Kika Kyaffe Buli Butesaasira Butambala E Bukesa Gye Tuva.

Akabbiro Kasimba Abaana N’abazzukulu Mbabulidde Ku Kika Kyaffe!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

 

Ebitaguju Ab’engo Tetulya! Tukitendeke N’abaana Bamanye Nti Okuva Edda N’edda Ab’engo Tukola N’amaanyi Okw’ezimba Mu Nsi Yaffe!

Mu Mirimu Gya Buganda Emikulu, Ye Ffe Abagiriinya Wonna Mukimanye – Okwalula Abaana Beŋŋoma Mulimu Gwa Kika Omutongole Gwe Twaweebwa!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

 

Katonda Ow’obuyinza Tukuwongera Ekika Kyaffe, Obukuumi N’obugabirizi Bwo Bitubengako Bonna Abazzukulu Ba Mutesaasira Mu Nsi Yonna!

Nze Okwagala Buganda Ku Mutima Tekinkakwa Kuba Eno Nsi Yange – Kalimikansinjo – Beene – Nannyinimu Wangaala Ofuge En’ensi!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

ABAYOGERA  KU MUKOLO GUNO BE BANO WAMMANGA:

 1. Ssentebe W’omuluka:

Yayaniriza Omutaka Mutesaasira mu kitundu kye.

Yebaza Banaddiini olw’okulyowa emyoyo.

Yalaga essanyu olw’Omutaka Mutesaasira okubakyalira.

Yasaba Abazirango okwerekereza baweerere abaana. Nabagumya nti embeera eyali mu ggwanga mu kaseera ako yali yakukyuka.

 1. Owomutuba gwa Ggwanga — Omw. Ssemuju Godfrey:

Yayaniriza Omutaka Mutesaasira, Abamasiga, Katikkiro awamu n’olukiiko olukulembeze.

Yayaniriza bazzukulu ba Kavuma e Ddajje.

Yalaga essanyu olw’okubanga Mukama yabasobozesa okutuukiriza enteekateeka z’omukolo guno.

Yebaza olukiiko olwategeka omukolo okusingira ddala; Hajjati Namazzi ne Katikkiro w’essiga.

Yebaza olw’obumu obwalabikawo mu Ssiga.

N’ayanjula akakiiko k’essiga eri Omutaka Mutesaasira.

Nasoma Alipoota Y’Essiga nga bwerambikiddwa wammanga:

ALIPOOTA YE SSIGA LYA KAVUMA E DDAJJE BUSUJJU.

 1. Abaaliko Ba Kavuma:
 2. Baamutemawa
 3. Kisaka
 4. Kigangali
 5. Namujulirwa
 6. Mawanga
 7. Waduma
 8. Mutaliri
 9. Kirabira
 10. Bamugye
 11. Mukaaya
 12. Balimuttajjo
 13. Kugulukumu
 14. Ggwanga
 15. Ssekigejja
 16. Kaggwomutunzi
 17. Kyefiira
 18. Mujiyala – Masiko
 19. Ssemakanda
 20. Bunjakko
 21. Mutalya
 22. Maliko Ssozi
 23. Patrick Mutesaasira

Ba Kavuma ekumi abasooka tebaazikibwa ku Ddajje, buli omu gye yafiiranga gye bamuziikanga. Olw’okubanga nti buli eyalya nga obwa Kavuma nga bamutta olw’okulwanira essiga lino. Bano be baziikibwa ku Ddajje; Bunjako, Mutalya, Kavuma Kaggwomutunzi ne Kavuma Maliko Ssozi.

Mu 1959, waaliwo okukaayanira essiga lino era lyawozebwa omusango Kavuma Ssozi naagusinga. Abaali mu musango ogwo be bano:

 1. Suudi Mukasa e Kafumu
 2. Ernest Musoke
 3. Yowana Mukasa
 4. Adulufu Mwanje
 5. Adulufu Kavuma
 6. Lauben Mukasa
 7. Petero Ssemuju
 8. Abakulu b’Emituba N’Ennyiriri:
 9. Yusufu Musoke
 10. Yozefu Byansi
 11. Alifunsi Lubowa
 12. Adulufu Kavuma
 13. Lauben Mukasa
 14. Petero Kavuma
 • Emirimu Gya Kavuma:

Kavuma ye yazimbanga ennyumba eyayitibwanga Kubagana mu Lubiri lwa Kabaka Kintu awamu n’okusiigayo omwana embeerera mu Lubiri. Naye olwembeera eyakyuka ng’omwana omuwala oyo taliiko bukuumi, enkola ey’okusiiga omwana yasazibwamu.

 1. Emituba N’Ennyiriri:
 2. Ggwanga oguvaamu alya obwa Kavuma e Lugo mu Butambala.
 3. Wadduma e Bukasa Kyaddondo
 4. Wankwasi e Kabubbu Kyaddondo
 5. Ssebuyira e Nalyankanja Ssingo
 6. Luwagu Ssajjalyabeene e Namutunku
 7. Mutyabukira e Kafumu Mawokota
 8. Sseezi Balyokwabwe e Busula Bulemeezi
 9. Nkwanga e Ssokolo Busiro
 10. Ettaka:

Ettaka ly’essiga yiika ssatu (3) terinnaba kugyibwa ku kyapa ekya Mwami Mugomba.

Alipoota yawandiikibwa Owomutuba gwa Ggwanga e Lugo – Ssemuju Godfrey.

 

 1. Omukungu Kalyango Balireete – Minisita Wa “Protocol” Mu Kika:
 2. Yayaniriza Omutaka Mutesaasira, bajjajja ab’amasiga, abakungu mu kika n’abazirango bonna.
 3. Yayanjula Abakungu abaali ku mukolo nga be bano wammanga;
 • Omumyuka wa Katikkiro w’ekika asooka – Omukungu Bomboka Kakumba
 • Omukubiriza w’enkiiko (Sipiika) – Omukungu Mwanje Ishaak Musomesa
 • Omuwandiisi – Omukungu Ssegiriinya John Baptist
 • Ow’eby’ettaka – Omukungu Ssekidde Vicent
 • Ow’eby’entambula – Omukungu Lubowa Ramadhan
 • Ow’abavubuka – Omukungu Mwanje Saad
 • Ow’ebyamawulire – Omukungu Eliab Kadduukirizi
 • Ow’ebyabakyala – Omukungu Hajjati Namazzi Sarah
 • Omukunzi – Omukungu Lubowa

 

 1. Yayita Sipiika ayogereko eri Abazirango.
 2. Omukungu Mwanje Ishaak Musomesa – Mukubiriza W’enkiiko (Sipiika):

Yayaniriza Omutaka bajjajja ab’amasiga, abakungu mu kika n’abazirango bonna.

Yasomesa nti obukulembeze buva ku Kasolya—Masiga—Mituba—Ennyiriri—Empya—Ennyumba.

Yayanjula Magazine y’Ekika eri Abazirango n’abakubiriza okujigula okumanya ebifa ku kika.

Yayaniriza Omutaka Kavuma Patrick Mutesaasira eyatuuka ku mukolo mu kiseera kino naye nga mugonvu.

Yeyongerayo n’okulambulula ebitongole mu kika awamu n’emirimu gye bikola. Naakubiriza abazirango okwettanira ekika kuba buli nsonga esobola okukolwako mu kika.

Yasaba Abazirango okuwuliriza leediyo Akaboozi Ku Bbiri 87.9 buli Lwakusatu. Babeerako awamu n’omuwandiisi Ssegiriinya John Baptist nga boogera ku nsonga z’ekika.

Yabakubiriza okwettanira basale ezaaliwo mu kika basobole okusomesa abaana.

Yetonda olw’obutabaawo na lusissira lwa bya bulamu ku mukolo nga bwe yali enkola buli Jjajja Mutesaasira gye yakyala.

Yebaza minisita wabavubuka n’ebyemizannyo olw’okutegeka empaka z’amasiga n’emituba mu kika egya wangulwa Omutuba gwa Ssegiriinya e Lubanja.

Yategeeza Abazirango nga bwe babeera n’emikolo mu kika. Yayita Abazirango bonna okugenda e Butesaasira mu wiikendi ey’okubiri mu Ntenvu.

Yafundikira ayanja Certificate Z’ekika ng’erimu ku makubo ag’okuyingiza ssente mu kika nga ziri mu miteeko {10,000/-,20,000/-,50,000/-,100,000/- ne 1,000,000/-} naasaba bazigule.

Kalabalaba yayita Katikkiro w’essiga ayogereko eri Abagenyi.

 1. Ssekidde Sserujja Ronnie – Katikkiro W’essiga lya Kavuma e Ddajje:
 2. Yayita olukiiko olukulembeze olw’essiga okumwegattako nga yogera.
 3. Yayaniriza Jjajja Kavuma eyajja newankubadde yali mugonvu.
 4. Yebaza Jjajja Mutesaasira olw’okugenda e Ddajje.
 5. Yayanjulira Omutaka Mutesaasira olukiiko olukulembera Essiga;
 • Katikkiro — Ssekidde Sserujja Ronnie
 • Owamawulire — Kato Julius
 • Omuwanika — Hajjati Zam Namazzi
 • Sipiika — Jjuuko Christopher
 • Owabakyala — Namwanje Teopista
 • Owabaami — Kavuma Evariste
 • Abawala — Nalubowa Margaret
 • Ebyenjigiriza — Sseruwu Martin
 • Ebyemizannyo — Kintu Erastus
 • Ebyennono — Nakintu Beatrice
 • Ebyettaka — Kavuma Vicent
 • Mukiise — Lubowa Musa
 • Mukiise — Mwanje Ben
 • Mukiise — Fred Kiwanuka Ssekiranda
 • ________________________________

ALIPOOTA YA KATIKKIRO W’ESSIGA LYA KAVUMA E DDAJJE BUSUJJU

Okwaniriza:

Jjajja Mutesaasira Namuyimba Tendo, nze ayimiridde mu maasogo erinnya Ssekidde Sserujja Ronnie – Katikkiro w’essiga lya Kavuma e Ddajje wano w’otudde.

Kale no njagala okukwaniriza mu butongole nga Katikkiro wamu ne botambudde nabo era nabazirango mwenna. Tusanyuse nnyo era tweyagadde nnyo bwe wasiima nti olwa leero onobeera wano ky’otuukirizza. Mukama yebale abatambuzza naffe tubadde tubalindiridde ne ssanyu lingi nga bw’otulaba jjajja.

Tukwebaza nnyo olw’obukulembeze bwo obulungi obufudde ekika kyaffe okubeera ku ntikko. Tusaba  Mukama akwongere amaanyi n’okukirawo era nkusuubiza nti tuli wamu naawe mu nteekateeka zonna okutwala ekika kyaffe mu maaso.

 

Okwebaza:

Ng’olukiiko, twagala okwebaza Jjajja bwe wasiima wamu n’abemituba nemutusaamu obwesige okulembera essiga nga tuli wamu ne jjajja owessiga, ddala walonda bulungi.Kubanga eby’okulabirako bye bino by’olaba olwa leero. Tukoze nnyo nnyo okulaba nga ekyamazima omukolo guno guba mulungi nga wadde waliwo ebitateredde ebyagaana wanyindo okweggala.

Era jjajja ntwala omukisa guno okusiima, okwebaza bwe wasiima mu Ssiga lyaffe n’olonda Omumbejja Hajjat Namuju Namazzi Zam okubeera minisita wabakyala mu gavumenti yo. Ddala walonda bulungi kubanga ekyamazima atukoze bulungi ddala era jjajja omulabiranga ddala.

Njagala nyo okwebaza Abazirango okuva mu ssiga lyaffe wamu nabuli alina ky’akoze okulaba nga omukolo guno gubeera mulungi bwe guti, mwebale nnyo ddala, mundaze nti naffe AbaKavuma e Ddajje tujja kudda ku ntikko.

Enteekateeka Yange Mu Bukulembeze:

Jjajja nina enteekateeka mu ssiga lyange oyomuggundu eneretera essiga lyange okuba eky’okulabirako eri Amasiga amalala wadde nga ebintu bibadde tebitambula bulungi naye okujjakwo kulanga ebirungi bingi mu ssiga lyaffe jjajja.

Jjajja nga nkolera wamu ne; Abazirango okuva mu ssiga lyange n’emikwano gyaffe, twagala okweyama mu maasogo nti omulundi omulala bw’oliba osiimye okutukyalira, ojakusanga tufunye ennyumba eweesa essiga lyaffe ekitiibwa wamu n’ekika okutwaliza awamu.

Wadde nga waliwo ebisoomoza naye tukola buli ekisoboka okulaba nga tukola obutebalira okusitula essiga lyaffe nga bwe mumanyi nti essiga lyaffe lyerimu ku masiga gannansangwa mu kika kyengo.

Jjajja sirina kubuusabuusa tujja kukwatira wamu ng’abazirango okw’ekulakulanya.

Ebisoomooza:

Jjajja kantwale omukisa guno n’obuwombeefu bwe kuba nga kwe kusiima kwo, nsaba n’abemituba bandifunyeyo olusirika kubanga tebalambise bulungi bazzukulu baabwe okwagala ennyo ekika kyabwe.

Jjajja ekyamazima, tetufunye kulungamizibwa bulungi mu masiga, mumituba, munnyiriri, mumpya ne munnyumba – okutegeerera ddala ennono zaffe. Nga bwe tufunye omukisa guno n’otukyalira, kati tusimbudde ate nkusuubiza nti tetudda mabega.

Era jjajja ndeeta ekirowoozo nti ab’emituba bandifunye olusirika okusobola okulambika abazzukulu obulungi nga batuuza enkiiko mu Mituba gyabwe awamu ne mu masiga, ekyamazima ekitabaddeewo.

Okusiima:

Ntwala okusiima kwange eri Abazirango mwenna abakoleredde ennyo ekika kyaffe okugenda mu maaso era nsiima nnyo buli alina kyakoze okulaba nga omukolo guno gubaawo, mwebale nnyo mukoze bulungi.

Era ntwala omukisa guno okusiima ennyo Jjajja Mutesaasira wamu ne bajjajja abamasiga n’olukiiko lwonna olw’omulimu omulungi gwe mutukozeemu ekyamazima mutukoze bulungi nnyo era tusaba Mukama abasukkulumye mu byonna.

Mwebale nnyo Mukama abawe omukisa.

Jjajja ondabiranga ddala

Ssekidde Sserujja Ronnie

Katikkiro wa Kavuma e Ddajje – Busujju

Ssaabasajja Kabaka Awangaale.

 1. Omuwanika W’essiga – Omukungu Hajjat Namuju Namazzi Zam:

Yayaniriza Jjajja Mutesaasira awamu ne bajjajja abamasiga.

Yayolesa essanyu olwa bazzukulu be ssiga okujja mu bungi.

Yategeeza nga essiga bwe lyali libbulukuse kw’olwo.

Yebaza akakiiko akateesiteesi olw’okutegeka omukolo.

Yawa Jjajja Mutesaasira ekirabo kya yali amutegekedde.

Essiga nalyo lyawa Jjajja Mutesaasira ne Jjajja Kalyango ebirabo bye ttooke n’embuzi.

 

Oluvannyuma Sipiiika yayita Omumyuka wa Katikkiro Asooka ayogereko eri abantu.

 1. Omumyuka Wa Katikkiro W’ekika Ky’engo Asooka – Omukungu Bomboka Kakumba:
 2. Yayaniriza Jjjajja Mutesaasira, Jjajja Kavuma, ab’amasiga, Katikkiro wessiga, ab’emituba, abennyiriri, abempya, Abazirango, ab’emikago awamu n’abantu bonna abaaliwo.
 3. Yatuusa okwetonda kwa Katikkiro eyali ebweru we ggwanga mu kiseera ekyo.
 • Yayanjula abakungu abaaliwo ku mukolo mu kiseera ekyo: owabakyala, Sipiika, owebyentambula, owabavubuka nemizannyo, owentambula zomutaka, owebyettaka, owamawulire, omuwandiisi n’omukunzi. Naye nga olukiiko lwonna lutuulako abakungu 20.
 1. Yategeeza Abazirango nga Jjajja Mutesaasira bwe yali agenda mu Masiga n’Emituba egy’enjawulo okubabuuzako n’okubazaamu amaanyi.
 2. Yabagamba nti guno gwali mulundi gwa mwenda nga Jjajja Mutesaasira akyalira abazzukulu mu Masiga n’Emituba egyetuukira.
 3. Yayolesa essanyu kubanga yatuuka mu kifo nga Kavuma alina olukiiko olukulembera essiga.
 • Yabategeezanga ekika bwe kituuza enkiiko buli Lwamukaaga olusooka mu Mwezi ku Tavern Woods Hotel e Lubaga-Kabuusu okumpi ne Keleziya ye Lubaga. Naabakubiriza okuzijumbira.
 • Yategeeza Abazirango ng’ekika bwe kyalina ekibumbe ekyali kigenda okusimbibwa ku luguudo lwa Kabakanjagala. Yategeezanga buli kika bwe ky’alina okuwaayo obukadde kumi na busatu (13,000,000/-). N’asaba buli asobola okuwaayo ku lw’ensonga eyo.
 1. Yebaza abateesiteesi ; abazzukulu ba Kavuma e Ddajje n’abasaba baleme kukoma wano.
 2. Yabasaba babayite nga baggulawo ennyumba gye basuubiza okuzimba nga bayita mu Katikkiro w’essiga.
 3. Yasaba abazzukulu mu Ssiga bakwatizeeko Katikkiro awamu ne Jjajja Kavuma e Ddajje.
 • Yayanjula Magazine z’ekika nga buli emu yali ya Mutwalo Gumu (10,000/-). Yayongerako nti zino zifuluma buli mwaka nga zitongozebwa ku mukolo gwe Butesaasira.
 • Yayanjula Certificate z’ekika n’asaba buli Muzirango azigule okuwagira ekika.

Bw’atyo n’ayita Jjajja Kalyango ayogereko  eri Abazirango:

 1. Omukubiriza Wabamasiga – Jjajja Kalyango e Buvvi:

Yayaniriza Abalangira N’Abambejja (Abazirango).

Yayaniriza Omugeye Buwembo eyali ku mukolo (Maama wa Buganda – kubanga Nambi Nantuttululu muka Kabaka Kintu yali yeddira Ngeye).

Yayaniriza abataka Kavuma awamu ne Mutesaasira.

Yayanja Omubala gw’ekika nga bwe gulambikiddwa wammanga. Yategeeza ng’omubala bwe guli omukulu era ogulimu obubaka obungi;

Ggwe Ngo, Ggwe Musota

Bazannya Nengo, Nga Bagiyita Emmondo

Akaala Kengo Namuzisa

Ekyana Kyengo Kyegiriisa

Nnabbuto, Nnabbuto, Gwe Mpita!

 

Yebaza ab’essiga lya Kavuma olw’okubaaniriza.

Nga yesigama ku njogera eya: “ Mu ngo temuli nkazi temuli nsajja, buli evaayo etabaala bugo/masajja!” — Yebaza Hajjat Namazzi Namuju Zam olw’okuweereza ekika n’asaba abalala mu ssiga bamuyigireko.

Yayanjula Abamasiga N’Emituba egyetuukira abaali ku mukolo guno nga be bano wammanga:

 1. Ow’essiga lya Kavuma e Ddajje – Omutaka Kavuma Mutesaasira Patrick (Kabakyaza)
 2. Ow’essiga lya Namuyimba e Kibuye mu Kyaddondo – Omutaka Namuyimba Francis Anthony Lubowa
 • Ow’essiga lya Katabula e Buzirango Buddu – Omutaka Katabula Kintu David
 1. Ow’essiga lya Nakabambagiza e Nalugamba Busujju – Omutaka Nakabambagiza Mwanje Ernest
 2. Ow’omutuba gwa Nakatanza e Nakukuba Kyaddondo – Omutaka Nakatanza Kibuuka Muleme Lugondamajja
 3. Katikkiro w’essiga lya Mwanje e Nnono Busujju – Omw. Keeya Robert
 • Katikkiro w’essiga lya Bbugo e Mangira Kyaggwe – Omw. Lubowa Michael

Yategeeza nga ekika bwe kyalimu Amasiga 16 n’Emituba egyetuukira 4 mu kiseera ekyo.

Yaggumiza okusaba kwa Katikkiro w’essiga nti Ab’emituba betaaga olusirika bw’atyo ne yeyama okutuula nabo.

Yabategeeza nti baali bakunukira olw’okusuula obuvunaanyizibwa obusinga obungi. Kubanga Kavuma e Ddajje ye yalina omulimu  gw’okuseesa ewa Mwanje e Nnono.

Yawabula nti Abaganda bazza Obuganda emabega olw’abakyala okuziikibwa ku biggya bya ba bbaabwe. N’abasaba bakikomye olw’okukuuma ennono y’oluganda awamu n’obuko.

Yebaza ebirabo ebyabaweebwa.

Yamaliriza ayita Omutaka Mutesaasira ayogere eri Abazirango.

 1. OMUTAKA MUTESAASIRA – Keeya Tendo Namuyimba II:

Yatandika ayita Abazirango okugenda mu ddiiro okusanyukira awamu naye.

Yasanyuka olw’okulaba ku bazzukulu ba Kavuma e Ddajje n’abasaba bakubire Hajjat Namazzi Namuju Zam mu ngalo kubanga ye yali awaniridde ettaala y’essiga okutuuka kwolwo era nga yamanyiddwa eri ekika okuva mu ssiga eryo.

Yategeeza nga Kavuma e Ddajje bwe yali azaaye naye nga kati azaawuse era nga bajjajjaabwe baali basanyufu mu kiseera ekyo.

Yabasoomoza nti abamu baali tebatuukangako ku butaka obwo. Nabategeeza nti buvunaanyizibwa bwabe okudaabululawo.

Yayita bannyini ttaka okwali kutuula essiga lya Kavuma e Ddajje.
Bano basaba bongere okubeera obumu. Nebasaba abasenze banyweze obwananyini nga bayita mu kuteesa. Bwe batyo bawaayo yiika ssatu (3) naye nga ab’essiga baalina okutambuza ensonga.
Jjajja Muteesaasira yasaba zifuuke ttaano (5) ne bamusuubiza nti bajja kutuula bateese balabe eky’okukola. Jjajja Mutesaasira yategeeza nga bwe batayinza kuteesa ku ssiga nga teririna butaka. Bw’tyo naasaba bazzukulu ba Mugomba Augustine banannyini yiika 78 okuddiramu essiga lino lifune Obutaka bw’alyo obugumidde!

Yebaza abategesi awamu ne Katikkiro wessiga kuba yalaga enkiro mu lukiiko olukulembeze olugazi.

Yasabira Jjajja Kavuma asuuke.

Yabategeeza nga bwe baalina eby’okukola ebingi.

Yakubiriza Abazirango abalenzi bazaale. Najukiza bassenga ba baana obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okukubiriza bannyinaabwe okuzaala.

Yakubiriza Abazirango okw’esimbawo mu bukulembeze. Yasaba Omw. Buwembo ayigirize Abazirango eby’obufuzi ebirungi.

Yasaba ave e Ddajje n’abawala babiri abatwale basome obusawo mu Mityana School of Midwifery ku basale ezaweebwa ekika Omw. Kintu John nnyini ssomero eryo waggulu.

Yasaba buli muzirango asomese abaana; empisa y’ensi, obuwangwa, ennono, emmere, olulimi, ettaka awamu n’ensinza.

Yategeeza nti twatonderwa kulya. Nabakubiriza okulima emmere kuba “Eggye eritakkuse, terikuba musinde!”Nabasaba balime emmere yaabwe nansangwa nga; balugu ne kyetutumula.

Yabakubiriza okwettanira enteekateeka ez’obwa Kabaka era benyigire mu bireetebwa mu bitundu byabwe.

Yabasaba babeere eby’okulabirako eri ebika ebirala ng’abaana ba Kintu.

Yategeeza abazirango nti nga 1/07/2018; Kabaka yali agenda kutongoza ebibumbe by’ebika bya Baganda ku luguudo Kabakanjagala. Naasaba atandikire ku ssiga lya Kavuma e Ddajje okusonda ssente z’ekibumbe kuba buli kika ky’alina okuwaayo obukadde kkumi na busatu (13,000,000/-) ku lw’ensonga eno. Yanokolayo abazirango abamu mu ssiga lino. Oluvannyuma nabalala nabo ne bawaayo ku lw’ensonga eno. Basonda ssente 1,070,300/-.

Yakwasa Abazirango abaali baguze Certificate z’ekika.

Omutaka Kalyango yayita Omw. Buwembo Mande Kasule ayogereko eri Abazirango mu kiseera nga basonda ssente:

 • Ono ye councilor we Gombolola.
 • Yeyama okulima ekkubo erigenda e Ddajje
 • Yasaba Abaganda okujumbira emikolo nga gino era batwale nga abaana.
 • Yenyamira olw’okubanga ettaka ly’essiga lya Nakabambagiza e Nalugamba lyabbibwa lwa bugayaavu.
 • Yategeeza ng’abasenze ku ttaka lye Ddajje bwe baali abantu ba Mugomba n’asaba abazzukulu okubakwata obulungi.
 • Yasaba abaaliwo okusomesa abaana basobole okw’eyimirizaawo.
 • Yategeeza ng’abantu bwe bakyawa ababagamba ebituufu!
 • Yeyama okugulira Omutaka Mutesaasira manvuuli naasaba omukungu Kalyango Balireete avuunanyizibwa ku ntambula z’omutaka okukwatagana naye ku nsonga eno.

Omutaka Mutesaasira yebaza Omw. Buwembo olw’ekirabo ekya manvuuli.

Yategeeza nga bwe baali baddako okulambula Essiga lya Katabula e Buzirango Buddu.

Yakunga Abazirango okugenda e Butesaasira mu Ntenvu. Naasibula Abazirango n’abagenyi abayite.

 1. Okufundikira:

Omukolo gw’afundikirwa n’ekyemisana nga Omutaka Kavuma agabula abagenyi be. Oluyimba lw’ekika ne luyimbibwa omukolo ne guggalwawo.

 

BIWANDIIKIDDWA

MWANJE BRIAN
OMUGIRIINYA